Deuteronomy 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Seyiri mwasooka kubeeramu Bakori; mu kifo kyabwe mwaddamu bazzukulu ba Ezawu abaabagobamu ne babazikiriza, nga Yisirayeli bwe yakola mu nsi Omukama gye yabawa ebeere yaabwe.]
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biseera eby’edda Abakooli nabo baabeeranga mu Seyiri, okutuusa bazzukulu ba Esawu bwe baabasiguukulula ne babagobamu ne babazikiriza, ensi eyo ne bagyetwalira, bo ne bagibeeramu; okufaananako ng’Abayisirayiri bwe balikola mu nsi Mukama Katonda gye yabawa ey’obusika bw’obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Edda Abakooli be babeeranga ku Seyiri, naye abaana ba Esawu bwe bajja, ne babagobako, ne bazikiriza eggwanga lyabwe, ne basenga mu kifo kyabwe, okufaananira ddala ng'Abaisiraieri bwe baakola mu nsi Mukama gye yabawa okuba obutaka bwabwe).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abahoori nabo baabeeranga ku Seyiri mu kusooka. Naye bazzukulu ba Esawu bwe bajja, ne babagobako, ne bazikiriza eggwanga lyabwe, ne basenga mu kifo kyabwe, okufaananira ddala ng'Abayisirayeli bwe baakola mu nsi Mukama gye yabawa okuba obutaka bwabwe).
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'Abakooli baatuulanga ku Seyiri olubereberye, naye abaana ba Esawu ne babasikira; ne babazikiriza mu maaso gaabwe, ne batuula mu kifo kyabwe; nga Isiraeri bwe yakola ensi ey'obutaka bwe Mukama gye yabawa.)