Deuteronomy 2:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'onootuuka mu Bammoni, tobatulugunya era tobalumbagana, kubanga sijja kukuwa ku nsi y'Abammoni, kubanga nagiwa baana ba Loti ebeere yaabwe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe musemberera Abamoni temubasunguwaza so temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sigenda kubawa ku ttaka ly’Abamoni n’akatono okuba obutaka bwammwe, kubanga ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bw'onoosemberera abaana ba Amoni era ng'oboolekedde, tobasosonkereza so tobawakulako lutalo kubanga sijja kukuwa butaka ku nsi yaabwe, kubanga nnamala dda okugiwa abaana ba Lutti okuba obutaka bwabwe.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe munaasemberera ensi ey'Abammoni temubatawaanya era temubaggulako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa kitundu na kimu eky'ensi yaabwe. Ensi eyo nagiwa dda bazzukulu ba Looti okuba obutaka bwabwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bw'onoosemberera abaana ba Amoni era ng'oboolekedde, tobasunguwaza so toyomba nabo: kubanga sijja kukuwa ku nsi y'abaana ba Amoni okuba obutaka: kubanga nagiwa abaana ba Lutti okuba obutaka.