Deuteronomy 2:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali bantu ba maanyi nga bangi; nga bawagguufu ng'Abaanaki. Abo Omukama yabazikiriza, n'awa Abammoni abaabagobamu ne basenga mu kifo kyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baali basajja ba maanyi era nga bangi nnyo, nga bawanvu ng’Abanaki. Naye Mukama Katonda n’abawaayo eri Abamoni ne babazikiriza, ne batwala ensi yaabwe ne bagituulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baali ggwanga kkulu, ddene, era nga bawagguufu ng'Abanaki bwe baali, naye Mukama n'abazikiriza, Abammoni ne balyoka basenga mu nsi eyo, ne badda mu kifo kyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baali ggwanga kkulu ery'abantu abangi era abawagguufu ng'Abaanaki. Naye Mukama n'abazikiriza, Abammoni ne balyoka basenga mu nsi eyo ne badda mu kifo kya bali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eggwanga ekkulu era eddene era eggwanvu. nga Abanaki bwe bali; naye Mukama yabazikiriza mu maaso gaabwe; ne babasikira ne batuula mu kifo kyabwe: