Deuteronomy 2:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yabakolera nga bwe yali akoledde bazzukulu ba Ezawu ababeera e Seyiri; yabagobera Abakori n'abazikiriza. Baabagobamu ne badda mu kifo kyabwe n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne kifaananako nga Mukama bwe yazikiriza Abakooli abaalinga mu Seyiri, ensi yaabwe n’agiwa bazzukulu ba Esawu okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira n’okutuusa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama era bw'atyo bwe yakolera abaana ba Esawu ababeera ku Seyiri; bwe yazikiriza Abakooli, olwo abaana ba Esawu ne batuula mu nsi eyo, ne badda mu kifo kyabwe n'okutuusa leero).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama era bw'atyo bwe yakolera bazzukulu ba Esawu, ababeera ku Seyiri. Yazikiriza Abahoori, olwo bazzukulu ba Esawu ne basenga mu nsi eyo, ne badda mu kifo kya bali, n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bwe yakola abaana ba Esawu, abaatuula ku Seyiri, bwe yazikiriza Abakooli mu maaso gaabwe; ne babasikira, ne batuula mu kifo kyabwe okutuusa leero: