Deuteronomy 2:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Musituke. Mweyongereyo, musomoke omugga Arunoni. Laba, Sikoni kabaka w'e Kesuboni Omwamori mmuwadde mu mikono gyo, n'ensi ye. Mutandikireewo okugyezza; mumutabaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Musituke mutambule muyite mu kiwonvu ekya Alunoni. Otegeere kino nga Sikoni Omwamoli Kabaka w’e Kesuboni mmugabudde mu mukono gwo n’ensi ye yonna. Kale tandika okumutabaala, n’ensi ye ogyetwalire efuukire ddala yiyo ya butaka bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Musituke, mutambule, muyite mu kiwonvu kya Alunoni, Sikoni, Omwamoli, kabaka w'e Kesuboni, muwaddeyo awamu n'ensi ye mu mikono gyammwe, mumulwanyise mutwale ensi ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe twamala okusala ensalo ya Mowaabu, Mukama n'agamba nti: ‘Musituke, mutambule, muyite mu Kiwonvu Arunoni. Sihoni Omwamori, kabaka w'e Hesubooni, mmuwaddeyo awamu n'ensi ye mu mikono gyammwe, mumugguleko olutalo, mutandike okwefuga ensi ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mugolokoke, mutambule, muyite mu kiwonvu kya Alunoni: laba, ngabudde mu mukono gwo Sikoni Omwamoli, kabaka w'e Kesuboni, n'ensi ye: tanula okugirya, olwane naye mu lutalo.