Deuteronomy 2:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwa leero nzija kutandika okukuba encukwe mu mawanga gonna wansi w'eggulu, bakutye. Buli lwe banaakuwulirangako, nga bakankana, nga beenyoola olw'obulumi mu maaso go.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okutandika n’olunaku lwa leero amawanga gonna ag’oku nsi nzija kugateekamu entiisa bakankane nga bawulidde ettutumu lyo babeere mu kutiitiira n’okunyolwa ku lulwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva leero ntadde entiisa yo n'ekitiibwa kyo ku mawanga agali wansi w'eggulu lyonna. Banaawuliranga ettutumu lyo ne batekemuka era ne beeraliikirira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva olwaleero, amawanga agali ku nsi yonna nja kugakuba entiisa, gabatye, buli abanaawulira ettutumu lyammwe, bakankane era beeraliikirire.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Leero naasooka okuteeka entiisa yo n'ekitiibwa kyo ku mawanga agali wansi w'eggulu lyonna, abaliwulira ettutumu lyo ne bakankana ne balumwa ku bubwo.