Deuteronomy 2:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Nzikiriza nsalire mu nsi yo; nzija kukwata kkubo ddene lyokka, sijja kukyama kudda ku ddyo oba ku kkono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka nga tetuwunjuseeko kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
‘Ka mpite mu nsi yo; nnaatambuliranga mu luguudo mwokka, sijja kukyamira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tujja kukwata kkubo lyokka, awatali kuwunjawunja kudda ku ddyo wadde ku kkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpite mu nsi yo: naatambuliranga mu luguudo, sijja kukyamira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono.