Deuteronomy 2:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'abazzukulu ba Ezawu ababeera e Seyiri bwe bankola, ko n'Abamowabu abali mu Ari, okutuusa lwe nnaatuuka ku Yorudani, nsomoke, ndage mu nsi Omukama Katonda waffe gy'anaatuwa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bazzukulu ba Esawu abaabeeranga mu Seyiri, n’Abamowaabu abaabeeranga mu Ali bwe baatuleka, okutuusa lwe tulimala okusomoka Yoludaani ne tutuuka mu nsi Mukama Katonda waffe gy’ategese okutuwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, n'Abamowaabu abatuula mu Ali bwe banzikiriza; okutuusa lwe ndisomoka Yoludaani ne ŋŋenda mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okutuuka lwe tunaasomoka Omugga Yorudaani ne tuyingira mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa. Tukkirize, nga bazzukulu ba Esawu ababeera ku Seyiri n'Abamowaabu ababeera mu Ari, bwe baatukkiriza okuyita mu nsi yaabwe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, n'Abamowaabu abatuula mu Ali bwe bankola; okutuusa lwe ndisomoka Yoludaani okugenda mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa.