Deuteronomy 2:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye Sikoni kabaka w'e Kesuboni yagaana okutuleka okuyitawo, kubanga Omukama Katonda wo yali agugubizza omutima gwe, alyoke amuweeyo mu mikono gyo, nga bwe yakikoze kati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Sikoni Kabaka wa Kesuboni n’atatukkiriza kuyitawo. Kubanga Mukama Katonda wammwe yali akakanyazizza omwoyo gwe era ng’awaganyazizza omutima gwe, alyoke amugabule mu mukono gwammwe nga bwe kiri leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye Sikoni kabaka w'e Kesuboni n'atatuganya kuyita mu nsi ye; kubanga Mukama Katonda wo yakakanyaza omutima gwe, n'ajeema alyoke amuweeyo mu mukono gwo nga bwe kiri leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kyokka Sihoni kabaka w'e Hesubooni n'atatuganya kuyita mu nsi ye, kubanga Mukama Katonda wammwe yakalubya omwoyo gwe, n'amuwaganyaza omutima, tulyoke tumuwangule buwanguzi, twefuge ensi ye, mwe tuli kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Sikoni kabaka w'e Kesuboni n'atatuganya kuyita ku mabbali ge: kubanga Mukama Katonda wo yakakanyaza omwoyo gwe, n'amuwaganyaza omutima gwe alyoke amugabule mu mukono gwo nga leero.