Deuteronomy 2:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba nti: ‘Laba, ntandise okukuwa Sikoni n'ensi ye. Tandika okugiwangula ogitwale.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Laba, ntandise okugabula Sikoni n’ensi ye mu mukono gwo. Kale tandika okuwangula ensi ye yonna, olyoke ogyefunire okubeera obusika bwo era obutaka bwo obw’enkalakkalira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Laba, ntandise okubawa Sikoni n'ensi ye; kale mugiwangule mugituulemu.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Ntandise okubawa Sihoni n'ensi ye; kale mugiwangule, mugibeeremu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'aŋŋamba nti Laba, ntanudde okugabula Sikoni n'ensi ye mu maaso go: tanula okulya ensi ye olyoke ogisikire.