Deuteronomy 2:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sikoni n'avaayo okukwatagana naffe ng'ali n'eggye lye lyonna, mu lutalo lw'e Yawazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Sikoni n’eggye lye lyonna ne batulumba mu lutabaalo olw’e Yakazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sikoni n'abantu be bonna ne basitula okutulumba okutulwanyisiza e Yakazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sihoni ne yeesowolayo n'abantu be bonna okutwolekera mu lutalo e Yahazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sikoni n'alyoka asitula okutulumba, ye n'abantu be bonna okulwanira e Yakazi.