Deuteronomy 2:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda waffe n'amutuwa, ne tumukuba ne batabani be n'eggye lye lyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda waffe n’agabula Sikoni n’eggye lye lyonna, ne batabani be, mu mukono gwaffe ne tubawangula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda waffe n'amutuwa mu mukono gwaffe ne tumutta, ye n'abaana be n'abantu be bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda waffe n'amutuwa ne tumuwangula ne batabani be n'abantu be bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda waffe n'amugabula mu maaso gaffe; ne tumutta ye n'abaana be n'abantu be bonna.