Deuteronomy 2:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo ebibuga bye byonna ne tubiwamba, ne tubizikiririza ddala byonna na buli muntu, abasajja, abakazi n'abato; tetwalekamu n'omu yawonawo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kaseera ako twawamba ebibuga bye byonna ne tubizikiriza n’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana abato, tetwalekerawo ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne tunyaga ebibuga bye byonna, ne tuzikiririza ddala buli kibuga omuli abantu, wamu n'abakazi n'abaana abato; obutalekaawo n'omu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne tunyaga ebyali ebibuga bye byonna mu budde obwo. Ne tuzikiriza abantu bonna abasajja n'abakazi, n'abaana abato, awatali kulekawo n'omu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne tunyaga ebibuga bye byonna mu biro ebyo, ne tuzikiririza ddala buli kibuga omuli abantu, wamu n'abakazi n'abaana abato; tetwasigazaawo n'omu: