Deuteronomy 2:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva ku Aroweri ekiri ku lubalama lw'omugga Arunoni, n'okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu, okutuuka e Gileyaadi, tewaali kibuga kyatusukkirira; byonna Omukama Katonda waffe yabituwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva ku Aloweri ekiri ku lukugiro lw’Ekiwonvu Alumoni, n’okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu ekyo, n’okutuukira ddala mu Gireyaadi, tewaaliwo kibuga na kimu ekyatusukkirira amaanyi. Mukama Katonda waffe byonna yabitugabula mu mukono gwaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda waffe yatuwa byonna mu mukono gwaffe, okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, n'okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu okutuusa ku Gireyaadi. Tewali kibuga kyatulema olw'obugulumivu bwakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva ku Aroweri ku njegoyego z'Ekiwonvu Arunoni, n'ekibuga ekiri mu kiwonvu ekyo, okutuukira ddala e Gileyaadi, tewali kibuga kyatulema olw'obugulumivu bw'ebigo byakyo. Byonna Mukama Katonda waffe yabituwa ne tubiwamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, era okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu okutuusa ku Gireyaadi, tewali kibuga ekyatulema olw'obugulumivu bwakyo: Mukama Katonda waffe yagabula byonna mu maaso gaffe: