Deuteronomy 2:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka okusinziira ku ebyo byonna Omukama Katonda waffe bye yali atulagidde, temwalumba ku nsi y'Abammoni, n'eyo eri ku Kiwonvu Yabboki, n'eyeetoolodde ebibuga eby'omu nsozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ebifo, Mukama Katonda waffe bye yatulagira obutabisemberera, y’ensi y’abazzukulu ba Amoni, ne ku mbalama zonna ez’omugga Yaboki, n’ebibuga eby’omu nsi ey’ensozi; ebyo byo yatugaana okubikwatirako ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tetwasemberera nsi y'abaana ba Amoni, n'olubalama lw'Omugga Yabboki, n'ebibuga eby'omu nsi ey'ensozi, wadde ebifo ebirala byonna, Mukama Katonda waffe gye yatuziyiza okugenda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye tetwasemberera nsi y'Abammoni, n'olubalama lw'Omugga Yabboki, n'ebibuga eby'omu nsi ey'ensozi, wadde ebifo ebirala byonna Mukama Katonda waffe gye yatugaana okugenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kyokka tewasemberera nsi y'abaana ba Amoni: oluuyi lwonna olw'omugga Yaboki, n'ebibuga eby'omu nsi ey'ensozi, ne yonna Mukama Katonda waffe gye yatugaana.