Deuteronomy 2:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwekkaanye, temubalumbagananga; mu nsi yaabwe sijja kubawaamu wadde ekigere ekimu kiti, kubanga olusozi Seyiri naluwa Ezawu lubeere lulwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa ku ttaka lyabwe, wadde akatundu akatono awagya ekigere ky’omuntu. Kubanga ensi ey’ensozi eya Seyiri nagiwa dda Esawu okuba obutaka bwe obwenkalakkalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuyomba nabo; kubanga sijja kubawa kafo konna ku nsi yaabwe; kubanga nnamala dda okuwa Esawu olusozi Seyiri okuba obutaka bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temulwana nabo, kubanga mmwe sijja kubawa kitundu na kimu eky'ensi yaabwe, wadde akatundu akatono akalinnyibwamu ekigere, kubanga olusozi Seyiri naluwa Esawu okuba obutaka bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
temuyomba nabo; kubanga sijja kubawa ku nsi yaabwe newakubadde awalinnyibwa n'ekigere: kubanga nawa Esawu olusozi Seyiri okuba obutaka.