Deuteronomy 2:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emmere gye munaalya mugibagulangako na ffeeza, n'amazzi ge munaanywa mugabagulangako na ssente.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mubagulangako emmere gye munaalyanga nga mugisasulira n’ensimbi, n’amazzi ag’okunywa nago nga mugasasulira ensimbi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munaawangayo nsimbi okugula emmere gye mulya n'amazzi ge munywa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaawangayo nsimbi okubagulako emmere ne mulya, era munaawangayo nsimbi okubagulako amazzi, ne munywa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munaagulanga emmere na ffeeza gye bali mulyenga; era n'amazzi munaagagulanga na ffeeza gye bali munywenga.