Deuteronomy 20:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'ogendanga ku lutalo okulwanyisa abalabe bo, n'olaba abeebagazi, ebigaali n'obunene bw'eggye ly'abalabe nga bingi okusinga ggwe by'olina, tobatyanga, kubanga Omukama Katonda wo eyakuggya mu nsi y'e Misiri aliba naawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’onoobanga ogenze okutabaala abalabe bo, n’olaba embalaasi n’amagaali n’eggye eddene okukira eriryo, tobatyanga; kubanga Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y’e Misiri, anaabanga naawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bwemunatabaalanga okulwana n'abalabe bammwe, ne mulaba embalaasi n'amagaali n'eggye erisinga eryammwe obunene temubatyanga; kubanga Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ey'e Misiri ali wamu nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe mugendanga okulwanyisa abalabe bammwe, ne mulaba embalaasi n'amagaali n'eggye erisinga eryammwe obunene, temubatyanga, kubanga Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ali wamu nammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'otabaalanga okulwana n'abalabe bo, n'olaba embalaasi n'amagaali n’abantu abakusinga obungi, tobatyanga: kubanga Mukama Katonda wo ali wamu naawe, eyakuggya mu nsi y'e Misiri.