Deuteronomy 20:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bagaananga emirembe, ne bakuggulako olutalo, ekibuga okizingizanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekibuga ekyo bwe kinaagaananga okukkiriza emirembe, ne kisalawo okukulwanyisa, onookyebungululanga n’okizingiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe batakkirizenga kwewaayo mu mirembe ne basalawo okulwana, ekibuga ekyo munaakirwanyisanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe banaagaananga okwewaayo gye muli ne basalawo okubalwanyisa, munaazingizanga ekibuga ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe kitakkirizanga kulagaana mirembe naawe, naye nga kyagala okulwana naawe, n'olyoka okizingizanga: