Deuteronomy 20:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo abakazi n'abaana, ebisolo by'awaka n'ebirala ebiri mu kibuga, obyetwaliranga ng'omunyago gwo. Weeriiranga ku by'onyaze mu balabe bo, Omukama Katonda wo by'akuwadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka abakazi n’abaana abato, n’ebisibo by’ensolo, n’ebintu byonna ebinaabanga mu kibuga omwo, onoobyetwaliranga ng’omunyago gwo. Era onookozesanga nga bw’onooyagalanga omunyago gwonna ogunaavanga mu balabe bo Mukama Katonda wo gw’anaabanga akuwadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abakazi n'abaana abato n'ebisibo ne byonna ebiri mu kibuga, binaabanga munyago gwammwe, munaabyetwaliranga ne mubikozesa, kubanga Mukama Katonda wammwe abibawadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye muneetwaliranga abakazi n'abaana abato, n'amagana, na buli kintu ekinaabanga mu kibuga ekyo. Era munaakozesanga eby'omunyago byonna bye muggye ku balabe bammwe. Ebyo Mukama Katonda wammwe anaabanga abibawadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye abakazi n'abaana abato n'ebisibo ne byonna ebiri mu kibuga, omunyago gwakyo gwonna, oneetwaliranga okuba omunyago; era onoolyanga omunyago gw'abalabe bo, Mukama Katonda wo gwe yakuwa.