Deuteronomy 20:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mu bibuga Omukama Katonda wo by'agenda okukuwa tolekangamu ekintu kyonna ekissa omukka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mu bibuga bino Mukama Katonda wo by’akuwa okuba obusika bwo obw’enkalakkalira, tewaabeerengawo kintu n’ekimu ky’onoolekangamu nga kissa omukka, byonna onoobizikiririzanga ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ku bibuga by'abantu ebiri mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka; temuwonyangawo kintu kyonna ekissa omukka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye bwe munaawambanga ebibuga ebiri mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, temuutalizengawo kiramu na kimu ekissa omukka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ku bibuga by'abantu bano, Mukama Katonda wo b'akuwa okuba obusika, towonyangako kintu ekissa omukka kiremenga okufa: