Deuteronomy 20:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano mubawonganga okuzikirizibwa ne mbazikiririza ddala: Abakitti, Abaamori, Abakanaani, Abaperizzi, Abakivi, n'Abayebusi, ng'Omukama Katonda wo bwe yakulagira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, onoobamalirangawo ddala, nga Mukama Katonda wo bw’akulagidde,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye munaazikiririzanga ddala; Abakiiti, Abamoli, Abakanani, Abaperizi, Abakiivi, ne Abayebusi; nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaasaanyizangawo ddala abantu bonna: Abahiiti n'Abaamori, Abakanaani n'Abaperizi, Abahiivi n'Abayebusi, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye onoobazikiririzanga ddala; Omukiiti, n'Omwamoli, Omukanani, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi; nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira: