Deuteronomy 20:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga bagenda kubayigiriza okukola ebyenyinyalwa byonna bo bye bakola nga basinza balubaale baabwe, ne mukola mutyo ekibi eri Omukama Katonda wammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
balemenga kubayigiriza bikolobero bye bakola nga basinza bakatonda baabwe, bwe mutyo nammwe ne mwonoonanga eri Mukama Katonda wammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
balemenga okubayigiriza okukola emizizo gyabwe gyonna gye baakoleranga bakatonda baabwe; bwe mutyo muleme okunyiiza Mukama Katonda wammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mubattanga baleme kubaleetera kukola bibi ne munyiiza Mukama Katonda wammwe, nga babayigiriza okukola eby'emizizo byabwe byonna, bye baakoleranga balubaale baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
balemenga okubayigiriza okukola ng'eby'emizizo byabwe byonna bwe biri, bye baakoleraaga bakatonda baabwe; bwe mutyo mwandisobezza Mukama Katonda wammwe.