Deuteronomy 20:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'omalanga ebbanga eggwanvu ng'ozingizza ekibuga okirwanyise okiwambe, emiti gyakyo togizikirizanga togissangako mbazzi ogiteme, kubanga okyasobola okulyako ebibala. Togitemanga. Abaffe, emiti egiri mu nnimiro nagyo bantu nti olyoke ogizinde?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’onoozingizanga ekibuga, ng’olwana nakyo, okumala ebbanga eddene olyoke okiwangule, toddiranga mbazzi n’ozikiriza emiti gyakyo gyonna, kubanga ojjanga kwetaaga okulyanga ku bibala byagyo. Togitemanga. Emiti egy’omu nnimiro nagyo bantu olyoke ogizingize?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe munaazingizanga ekibuga okumala ennaku ennyingi nga mulwana nakyo okukinyaga, temutemanga miti gya bibala, kubanga muyinza okugiryako, gyo si be balabe bammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe munaamalanga ebbanga eggwanvu nga muzingizizza ekibuga nga mukirwanyisa okukiwamba, temuuzikirizenga miti gyakyo nga mugigalulira embazzi, kubanga muyinza okugiryako ebibala. N'olwekyo temuugitemenga. Kale omuti ogw'omu nnimiro oba ogw'omu ttale, muntu nti muguzingize?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'onoomalanga ebiro bingi ng'ozingizza ekibuga, ng'olwana nakyo okukinyaga, tozikirizanga miti gyakyo ng'ogigalulira embazzi; kubanga oyinza okugiryako, era togitemanga; kubanga omuti ogw'omu nsiko muntu, ggwe okuguzingiza gwo?