Deuteronomy 20:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga Omukama Katonda wammwe y'agenda nammwe, ye mu kifo kyammwe y'ajja okulwana n'abalabe bammwe abawanguze.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama Katonda wammwe y’anaagendanga nammwe okubalwanirira ng’alwanyisanga abalabe bammwe, n’okubawanga mmwe obuwanguzi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga Mukama Katonda wammwe ye agenda nammwe, okubalwanirira n'okubalokola eri abalabe bammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama Katonda wammwe ye anaagenda nammwe okulwanyisa abalabe bammwe ku lwammwe, n'okubatuusa mmwe ku buwanguzi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga Mukama Katonda wammwe ye wuuyo agenda nammwe, okubalwanirira eri abalabe bammwe okubalokola.