Deuteronomy 20:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abakulu b'ebibinja balangiriranga eri eggye nti: ‘Waliwo n'omu eyazimba ennyumba empya atannagitukuza? Addeyo ewaabwe, sikulwa ng'afiira mu lutalo, ate omulala n'agitukuza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaami banaayogeranga eri eggye nga bagamba nti, “Waliwo mu mmwe alina ennyumba empya gye yeezimbira naye nga tennatukuzibwa? Kimusanidde addeyo mu nnyumba ye, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omulala n’agitukuza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakulu mu ggye banaayogeranga n'abantu nga bagamba nti, ‘ Wano waliwo omuntu eyazimba ennyumba empya naye nga tannagiwonga eri Mukama?’ Omuntu oyo addeyo eka agiwonge, si kulwa ng'afiira mu lutalo omuntu omulala n'agiwonga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo abakulu mu ggye banaayogeranga n'abaserikale, ne babagamba nti: ‘Wano waliwo abadde azimbye ennyumba, kyokka nga tannakola mukolo gwa kugiyingira? Oyo addeyo eka, sikulwa ng'afiira mu lutalo, omuntu omulala n'akola omukolo ogw'okugiyingira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abaami banaayogeranga n'abantu nga bagamba nti Muntu ki ali wano eyazimba ennyumba empya so nga tannagitukuza? agende addeyo eka, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'agitukuza.