Deuteronomy 20:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Waliwo n'omu eyasimba emizabbibu atannaba kugiryako? Addeyo ewaabwe, sikulwa ng'afiira mu lutalo, ate omuntu omulala n'agyeriira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo mu mmwe eyalima ennimiro y’emizabbibu naye nga tannatandika kulya ku bibala byamu? Kimusaanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omuntu omulala n’alya ebibala byamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era muntu ki ali wano eyasimba olusuku lw'emizabbibu, so nga tannalya ku bibala byalwo? Addeyo eka alye ku bibala, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'abirya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ani ali wano, eyasimba ennimiro ey'emizabbibu, atannalya ku bibala byayo? N'oyo addeyo eka, sikulwa ng'afiira mu lutalo ne biriibwa omulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era muntu ki ali wano eyasimba olusuku lw'emizabbibu, so nga tannalya ku bibala byalwo? agende addeyo eka aleme okufiira mu lutalo, omulala n’alya ebibala byalwo.