Deuteronomy 20:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Waliwo n'omu eyayogereza omukazi n'atamuwasa? Addeyo ewaabwe, sikulwa ng'afiira mu lutalo, ate omuntu omulala n'amuwasa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo mu mmwe eyali ayogereza omukazi, naye nga tannamuwasa? Kimugwanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’afiira mu lutalo, omuntu omulala n’awasa omukazi oyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era muntu ki ali wano eyayogereza omukazi, so nga tannamuwasa? Addeyo eka amuwase, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'amuwasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wano era waliwo ayogereza omukazi kyokka nga tannamuwasa? Era n'oyo addeyo eka, sikulwa ng'afiira mu lutalo, omukazi n'awasibwa omusajja omulala.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era muntu ki ali wano eyayogereza omukazi, so nga tannamuwasa? agende addeyo eka, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'amuwasa.