Deuteronomy 20:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebyo bwe biggwanga okwogera, abakulu b'ebibinja bagattangako nti: ‘Waliwo yenna atidde oba ow'omutima ogumutekemuse? Addeyo ewaabwe, sikulwa ng'aleetera baganda be okutekemuka mu mutima.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaami banaayongeranga okwogera eri eggye nga bagamba nti, “Waliwo mu mmwe omutiitiizi, oba aweddemu amaanyi mu mutima? Kimusaanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’aleetera banne omutima omutiitiizi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakulu baneeyongeranga okugamba abantu ne boogera nti, Muntu ki wano atidde era aweddemu omutima? Oyo addeyo eka, sikulwa nga ne banne baggwamu omutima nga ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abakulu mu ggye era baneeyongeranga okugamba abaserikale nti: ‘Wano waliwo atidde era aweddemu omutima? Oyo addeyo eka, sikulwa nga ne banne baggwaamu omutima nga ye.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abaami baneeyongeranga okugamba abantu ne boogera nti Muntu ki ali wano atya era alina omutima oguddirira? agende addeyo eka, emitima gya baganda be gireme okusaanuuka ng'omutima gwe.