Deuteronomy 21:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu nsi Omukama Katonda wo gy'alikuwa ogitwale bwe musangibwangamu eyo ku ttale omuntu attiddwa, eyamutta nga tamanyiddwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’olimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda gy’akuwa okugirya, omuntu n’asangibwa mu nsiko ng’attiddwa, kyokka ng’eyamusse tamanyiddwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okutuulamu, omuntu bw'anaasangibwanga mu nsiko ng'attiddwa naye amusse nga tategeerekese;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okugyefuga, omuntu bw'anattibwanga, n'asangibwa mu nnimiro oba ttale, ng'amusse tamanyiddwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'anaasangibwanga ng'attiddwa mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okugirya, ng'ali mu nsiko, so tekimanyibwa bw'ali amukubye: