Deuteronomy 21:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ayambulamu ebyambalo bye eby'obusibe, n'atuula mu nnyumba yo okumala omwezi mulamba ng'akaabira kitaawe ne nnyina. Oluvannyuma oyinza okugenda gy'ali n'omuwasa n'afuuka mukazi wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’engoye ze mwe yawambirwa azeeyambulangamu. Bw’anaamalanga mu nju yo omwezi mulamba ng’akungubagira kitaawe ne nnyina, onoogendanga gy’ali n’obeera bba, naye anaabeeranga mukazi wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era anaayambulangamu ebyambalo eby'obunyage, n'abeera mu nnyumba yo okumala omwezi mulamba ng'akabira kitaawe ne nnyina; kale oluvannyuma onegattanga naye n'aba mukazi wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'akyusa engoye ze yawambirwamu, n'abeera mu nnyumba yo. Anaamalanga omwezi mulamba ng'akaabira kitaawe ne nnyina, n'oluvannyuma n'olyoka weebaka naye, n'ofuuka bba, naye n'afuuka mukazi wo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era anaayambulanga ebyambalo eby'obunyage bwe, n'abeera mu nnyumba yo n'amala omwezi omulamba ng'akaabira kitaawe ne nnyina: kale oluvanayuma n'olyoka oyingira gy'ali; n'oba bba naye nga mukazi wo.