Deuteronomy 21:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'abanga takyakusanyusa, omulekanga n'agenda gy'ayagala. Tomutundangamu ssente, era tomuyisanga ng'omuddu, kubanga wamutoowaza dda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka bw’anaabanga takusanyusizza, omuwanga eddembe n’agenda so tomutundanga nsimbi. Tomuyisanga nga muddu, kubanga ggwe wamumalamu ekitiibwa kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bw'ataganjenga mu maaso go, onoomulekanga n'agenda gy'ayagala; naye tomutundangamu bintu, so tomuyisanga nga omuzaana, kubanga wegattako naye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bw'onoolabanga nga takyakusanyusa, onoomulekanga n'agenda gy'ayagala, wabula toomutundengamu nsimbi. Toomuyisenga nga muzaana, kubanga wamutoowaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaatuukanga, bw'otoomusanyukirenga n'akatono, onoomulekanga okugenda gy'ayagala; naye tomutundangamu bintu n'akatono, tomukolanga ng'omuzaana, kubanga wamutoowaza.