Deuteronomy 21:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omuntu bw'abeeranga n'abakazi ababiri omu nga muganzi omulala nga mukyawe, bombi bamala bamuzaalira abaana ab'obulenzi, ate ng'ow'omukyawe ye muggulanda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja bw’anaabanga n’abakazi babiri, omu nga muganzi naye omulala nga mukyawe, bombi ne bamuzaalira abaana aboobulenzi, naye ng’omwana omubereberye ye w’omukyawe;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omusajja bw'abanga n'abakazi babiri, omu nga muganzi okusinga omulala, bombi ne bamuzaalira abaana; kyokka ng'omwana omulenzi omubereberye wa mukazi atali muganzi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omusajja bw'anaabanga n'abakazi babiri, ng'omu gw'asinga okwagala, ng'omulala si muganzi, nga bombi baamuzaalira abaana, kyokka ng'omwana omulenzi omuggulanda wa mukazi atali muganzi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja bw'abanga n'abakazi babiri, omu nga muganzi, omulala nga mukyawe, era nga bombi baamuzaalira abaana, omuganzi n'omukyawe; era omwana ow'obulenzi omubereberye bw'abanga ow'omukyawe;