Deuteronomy 21:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bw'ayagalanga okubagabanyiza eby'obusika, omwana w'omuganzi tamuwanga eby'obuggulanda n'amukiza omuggulanda yennyini omwana w'omukyawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bw’anaabanga agabira batabani be abo ebintu bye mu ddaame lye, takkirizibwenga kuyisa mwana wa muganzi ng’omubereberye, singa omwana w’omukyawe ye mubereberye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omusajja oyo bw'anaatuusanga okulaamira abaana be ebintu by'alina, taafuulenga mwana wa mukazi omuganzi okuba omubereberye, mu kifo ky'omwana omulenzi omubereberye omutuufu, eyazaalibwa omukazi atali muganzi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omusajja oyo bw'anaatuusanga okulaamira abaana be ebintu by'alina, taafuulenga mwana wa mukazi omuganzi okuba omuggulanda, mu kifo ky'omwana omulenzi omuggulanda omutuufu, eyazaalibwa omukazi atali muganzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo olunaatuukanga, ku lunaku lw'alisisa abaana be ebyo by'alina, tafuulanga mwana wa muganzi okuba omubereberye, omwana w'omukyawe, ye mubereberye, ng'akyali mulamu: