Deuteronomy 21:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ow'omukyawe gw'akakasanga ku buggulanda, byonna by'alina amuwangako bya mirundi ebiri; anti oyo kye kibala ekisooka eky'amaanyi ge, obukulu bw'obuggulanda ye nnyinibyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaasaaniranga okukkiriza nti omwana w’omukyawe ye mubereberye, era anaamuwanga emiteeko ebiri egy’ebintu bye byonna by’alina, kubanga oyo ge maanyi ga kitaawe amabereberye. Ye nannyini ddembe ery’obwebange ery’omwana omubereberye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye anakkirizanga omwana omulenzi omubereberye, ow'omukazi atali muganzi, n'amuwa emigabo ebiri ku byonna by'alina; kubanga oyo ye yasooka okuva mu maanyi ge, eby'omubereberye byonna bibye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula anakkirizanga nti omwana ow'omukazi atali muganzi ye mwana omuggulanda, n'awa omwana oyo omugabo gwe ogw'emirundi ebiri, ku bintu bye byonna by'alina, kubanga ye mwana eyasooka okuva mu maanyi ge. N'olwekyo eby'omwana omulenzi omuggulanda bibye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye anakkirizanga omubereberye, omwana w'omukyawe, ng'amuwa emigabo ebiri ku ebyo byonna by'alina: kubanga oyo kwe kusooka kw'amaanyi ge; eby'omubereberye bibye.