Deuteronomy 21:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omuntu bw'abanga n'omwana ow'emputtu, omujeemu, atawulira kitaawe oba nnyina kye bamugamba, bwe bamubonereza nga tabawuliriza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu bw’anaabanga ne mutabani we omukakanyavu omujeemu atagondera biragiro bya kitaawe wadde ebya nnyina, atabafaako bwe bamubonerezaamu olw’obutawulira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omuntu bw'abanga ne mutabani we omukakanyavu era omujeemu, nga tagondera kitaawe ne nnyina, era nga tawulira ne bwe bamubonereza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuzadde bw'anaabanga alina mutabani we ow'emputtu era omujeemu, atagondera kitaawe oba nnyina, era nga ne bwe bamubonereza, takkiriza kubawulira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'abanga ne mutabani we omukakanyavu omujeemu, atakkiriza kugondera ddoboozi lya kitaawe, newakubadde eddoboozi lya nnyina, era newakubadde nga bamubonereza, nga takkiriza kubawulira: