Deuteronomy 21:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abakadde n'abalamuzi bo bafulumanga ne bapima ebbanga okuva awali omulambo okutuuka ku bibuga ebyetooloddewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bakadde bo, abakulembeze, n’abalamuzi bo banaafulumanga ne bagenda bapima obuwanvu bw’ebbanga okuva ku mulambo okutuuka ku bibuga ebinaabanga bigwebulunguludde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abakadde n'abalamuzi bammwe banaagendanga ne bapima ebbanga, okuva ku mulambo okutuuka ku buli kimu ku bibuga ebiriraanyeewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abakulembeze n'abalamuzi bammwe banaagendanga ne bapima ebbanga okuva ku mulambo okutuuka ku buli kimu ku bibuga ebiriraanyeewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abakadde bo n'abalamuzi bo ne balyoka bafulumanga, era banaageranga okutuuka ku bibuga ebimwetoolodde oyo eyattibwa: