Deuteronomy 21:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagambanga abakadde b'ekibuga nti: ‘Omwana waffe ono wa mputtu, mujeemu, tatuwulira, musaasaanya era mutamiivu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Banaategeezanga abakulu abakulembeze b’omu kibuga kye waabwe nti, “Mutabani waffe ono mukakanyavu era mujeemu. Tatuwulira. Wa mulugube nnyo era mutamiivu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bamuloopa eri abakadde ab'omukibuga nti, ‘Omwana waffe ono mukakanyavu era mujeemu, tawulira, wa mpisa mbi era mutamiivu.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bategeeza abakulembeze abo nti: ‘Omwana waffe ono wa mputtu era mujeemu, takyakkiriza kugondera bye tumugamba. Wa mpisa mbi era mutamiivu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bagamba abakadde ab'omu kibuga kyabwe nti Omwana waffe ono mukakanyavu mujeemu, takkiriza kugondera ddoboozi lyaffe; wa mpisa mbi, era mutamiivu.