Deuteronomy 21:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omulambo gwe temugulekanga ne gusula ku muti; aziikibwanga ku lunaku olwo lwennyini, kubanga buli awanikibwa ku muti abeera kikolimo ewa Katonda. Tojaajamyanga nsi yo Omukama Katonda wo gye yakuwa ng'obusika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omulambo gwe teguulekebwenga ku muti ne gusulako ekiro kyonna; onoomuziikanga ku lunaku olwo lwennyini, kubanga omuntu awanikibwa ku muti, Katonda aba amukolimidde. Togwagwawazanga nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omulambo gwe tegusulanga ku muti, naye mumuziikirangawo ku lunaku olwo; kubanga awanikiddwa, aleme okuleeta ekikolimo ku nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omulambo gwe teguusulenga ku muti, wabula munaamuziikanga ku lunaku olwo lwennyini, kubanga omuntu awanikiddwa, aba akolimiddwa Katonda. Kale mulemenga kufaafaaganya nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omulambo gwe tegusulanga ku muti, naye tolemanga kumuziika ku lunaku olwo; kubanga awanikiddwa ng'akolimiddwa Katonda; olemenga okugwagwawaza ensi yo Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika.