Deuteronomy 21:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo bakabona basemberanga, bazzukulu ba Leevi, Omukama Katonda wo be yalonda bamuweereze, bawe n'omukisa mu linnya lye n'okumala ensonga zonna ez'okusoowaagana n'okulwana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno batabani ba Leevi, bakabona, banaavangayo ne basembera, kubanga Mukama Katonda wo yabalonda okumuweerezanga, n’okusabiranga emikisa mu linnya lya Mukama n’okutereezanga empaka zonna n’obulumbaganyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakabona ab'omu kika kya Leevi, abo Mukama Katonda wammwe be yeeroboza okumuweerezanga n'okuwanga omukisa mu linnya lye, n'okutawulula abakaayana, n'abalwanaganye, banajjanga ne babawoleza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakabona ab'omu Kika kya Leevi banajjanga, kubanga abo Mukama Katonda wammwe be yeeroboza okumuweerezanga n'okuwanga omukisa mu linnya lye, era be basalawo ensonga z'abakaayana, n'abalwanaganye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo bakabona abaana ba Leevi banaasemberanga; kubanga abo Mukama Katonda wo be yeeroboza okumuweerezanga, n'okusabanga omukisa mu linnya lya Mukama; era ng'ekigambo kyabwe bwe kinaabanga, bwe zityo buli mpaka na buli kulumbagana bwe binaamalibwanga: