Deuteronomy 21:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakadde bonna ab'omu kibuga ekyo ekiri okumpi n'awali oli eyattibwa, banaabiranga engalo zaabwe ku nnyana gye bamenye ensigo mu kiwonvu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakadde abakulembeze bonna ab’omu kibuga ekinaasinganga okuliraana omulambo ogwo, banaanaabiranga engalo zaabwe ku nte eri enduusi eyamenyebbwa ensingo mu kiwonvu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakadde bonna ab'omu kibuga ekisinga okuba okumpi n'omuntu eyattibwa, banaanaabiranga engalo ku nte enduusi ekutuddwako ensingo mu kiwonvu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo abakulembeze bonna ab'omu kibuga ekisinga okuba okumpi n'omulambo gw'omuntu eyattibwa, banaanaabiranga engalo zaabwe ku nnyana emenyeddwa ensingo mu kiwonvu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo abakadde bonna ab'ekibuga ekyo, abasinga okuba okumpi omuntu eyattibwa, banaanaabiranga engalo ku nte enduusi ekutuddwako ensingo mu kiwonvu: