Deuteronomy 21:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'otyo bw'oneggyangako okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, kasita olikola ekituufu mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’otyo bw’onoggyangawo omusango wakati wammwe ogw’okuyiwa omusaayi ogutaliiko nsonga, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe munaakolanga bwe mutyo, nga Mukama bw'alagira, bwe muneggyangako omusango oguli mu mmwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bwe munaakolanga ebyo Mukama by'alaba nti bituufu, munaggyibwangako omusango ogw'obutemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'otyo bw'onoggyangawo omusaayi ogutaliiko musango wakati wo, bw'onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekirungi.