Deuteronomy 22:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'olabanga ente ya muganda wo oba endiga ye ng'ebula, leka butafaayo; wabula laba nti ogizzaayo gy'ali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’olabanga ente ya munno, oba endiga ye, ng’ebula okuva ewaabayo, togirekanga bulesi ne weesuulirayo ogwa nnaggamba naye ogikwatanga n’ogizzaayo ewa nnyiniyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'olabanga ente oba endiga ya munno nga ebula, togirekanga, ogizzangayo eri nnyiniyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Toolabenga nte ya munno oba endiga ye ng'ebula, n'ogireka. Oteekwa okugizza gy'ali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tolabanga nte ya muganda wo newakubadde endiga ye ng'ekyama, ne weekweka okuva gye ziri: tolemanga kuzizza eri muganda wo.