Deuteronomy 22:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Toyambalanga kyambalo kitobeke, ebyoya by'endiga nga biri wamu ne wuzi za kitaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temwambalanga ngoye ezinaabanga zirukiddwa n’ewuzi z’ebyoya by’endiga nga zigattiddwa wamu n’ewuzi eza linena.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Toyambalenga lugoye lulukiddwa nga batobeka ewuzi ez'ebyoya, n'ez'ekika ekirala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tooyambalenga lugoye lulukiddwa nga batobeka ewuzi ez'ebyoya, n'ez'ekika ekirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Toyambalanga lugoye olugatta ebibiri, ebyoya ne segamwenge wamu.