Deuteronomy 22:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kitaawe w'omuwala ne nnyina ne mwannyina batwaliranga abakadde b'ekibuga eri ku mulyango gw'ekibuga obubonero obulaga nga yali mubeererevu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitaawe w’omuwala oyo ne nnyina banaaleeteranga abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo, nga bali ku wankaaki waakyo, obujulizi obunaalaganga ng’omuwala waabwe yali mbeerera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kitaawe ne nnyina w'omuwala oyo banatwalanga essuuka eyakozesebwa ku buliri, eriko obubonero obw'obutamanya musajja; ne bagireetera abakadde b'ekibuga, mu mulyango awasalirwa emisango, okukakasa nti omuwala yali mbeerera,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kitaawe ne nnyina w'omuwala oyo banaakwatanga olugoye olw'essuuka olwakozesebwa mu buliri ku lunaku olw'embaga, ne balulaga abakulembeze b'ekibuga, mu kifo we basalira emisango, okukakasa nti omuwala yali mbeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo kitaawe w'omukazi ne nayina ne balyoka baddira obubonero bw'omuwala oyo obw'obutamanya musajja ne babuleetera abakadde b'ekibuga mu mulyango: