Deuteronomy 22:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amuwaayiriza ng'agamba nti: “Muwala wo saamusangako kabonero ka bubeererevu.” Naye biibino ebikakasa obubeererevu bwa muwala wange.’ Banjuluzanga ekikubiro mu maaso g'abakadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano wuuno amuwaayiriza ng’amukonjera ng’amwogerako nti, Muwala wo namusanga nga si mbeerera.” Naye obujulizi buubuno obulaga ng’omwana wange ono omuwala yali mbeerera. Abazadde b’omuwala banaayanjululizanga essuuka y’obuliri mu maaso g’abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era, laba, amuwawaabidde eby'ensonyi, ng'agamba nti saalaba mu mwana wo bubonero bwa butamanya musajja; era naye obubonero bw'omwana wange obw'obutamanya musajja buubuno.’ Awo ne banjuluza essuuka mu maaso g'abakadde b'ekibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era wuuno amuwawaabidde ng'amwogerako eby'ensonyi, ng'agamba nti muwala wange teyamusanga nga mbeerera. Naye buno bwe bubonero obulaga nga muwala wange yali mbeerera.’ Ne balyoka banjuluza olugoye mu maaso g'abakulembeze b'ekibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era, laba, amuwawaabidde eby'ensonyi, ng'agamba nti Saalaba mu mwana wo bubonero bwa butamanya musajja; era naye obubonero bw'omwana wange obw'obutamanya musajja buubuno. Kale ne bayaliira ekyambalo mu maaso g'abakadde b'ekibuga.