Deuteronomy 22:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bamusaliranga engassi ya sekeli eza ffeeza kikumi, z'aliriwa kitaawe w'omuwala, kubanga omusajja ono yaweebuula muwala wa Yisirayeli. Amusigazanga nga mukazi we, era tamugobanga ennaku zonna ez'obulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate ne bamusalira omutango gwa sekeri za ffeeza kikumi; banaaziwanga kitaawe w’omuwala; kubanga omusajja oyo anaabanga aleese erinnya ebbi ku muwala wa Isirayiri embeerera. Omuwala oyo anaabeeranga mu maka g’omusajja oyo ebbanga lyonna, era omusajja takkirizibwenga kugoba mukazi we oyo ebiro byonna omusajja oyo by’alimala nga mulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bamutanza sekeri eza ffeeza kikumi (100), ne baziwa kitaawe w'omuwala oyo, kubanga omusajja oyo yayonoona erinnya ly'omwana embeerera Omuisiraeri; era anaabanga mukazi wa musajja oyo obutamugobanga ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era banaamutanzanga ebitundu kikumi ebya ffeeza, ne babiwa kitaawe w'omuwala, kubanga omusajja oyo yayonoona erinnya ly'omuwala embeerera Omuyisirayeli. Omuwala oyo anaabanga mukazi wa musajja oyo, era omusajja oyo mu bulamu bwe bwonna, taagobenga mukazi oyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bamutanza sekeri eza ffeeza kikumi, ne baziwa kitaawe w'omuwala oyo, kubanga yamuleetako erinnya ebbi omuwala wa Isiraeri: era anaabanga mukazi we; tamugobanga ennaku ze zonna.