Deuteronomy 22:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba muganda wo tali kumpi, oba tomumanyi, ogitwalanga ewuwo, esigale eyo okutuusa muganda wo lw'alijja ng'aginoonya, awo n'ogimuddiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nannyini yo bw’abanga tasula kumpi naawe, obanga nannyini yo tomumanyi, ogireetanga mu maka go n’obeeranga nayo okutuusa nannyini yo lw’alijja ng’aginoonya; olwo nno n’olyoka ogimuddiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye munno bw'abanga tali kumpi, oba nnyiniyo nga tomumanyi, ogitwalanga ewuwo, okutuusa nnyiniyo lw'aliginoonya n'ogimuwa. Era muganda wo bw'aba nga takuli kumpi oba bw'oba nga tomumanyi, onoogitwalanga eka ewuwo, eneebeeranga naawe okutuusa muganda wo lw'aliginoonya, n'ogizza nate gy'ali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka nnannyiniyo bw'aba tali kumpi naawe, oba bw'oba nga tomumanyi, olwo onoogitwalanga eka ewuwo, n'ogikuuma okutuusa lw'alijja ng'aginoonya n'ogimuddiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era muganda wo bw'aba nga takuli kumpi oba bw'oba nga tomumanyi, onoogitwalanga eka ewuwo, eneebeeranga naawe okutuusa muganda wo lw'aliginoonya, n'ogizza nate gy'ali.