Deuteronomy 22:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omuwala bamutwalanga ku mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga kye ne bamukuba amayinja n'afa, kubanga yakola eky'obugwagwa mu Yisirayeli bwe yakola obwamalaaya mu nnyumba ya kitaawe. Oteekwa okuggyira ddala ekibi kino mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale nno omuwala oyo anaaleetebwanga ku muzigo gw’ennyumba ya kitaawe, era abasajja ab’omu kibuga ky’omuwala oyo banaamukubiranga awo amayinja n’afa. Kubanga anaabanga akoze ekikolwa kya bugwenyufu nnyo eky’okumanya abasajja ng’akyali mu luggya lwa kitaawe. Ekibi musaananga mukimalemu mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo banaamutwalanga ku mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga kyabwe banaamukubanga amayinja ne bamutta, kubanga yakola eby'ensonyi mu Isiraeri, n'ayendera mu nnyumba ya kitaawe; bw'otyo bw'onoggyangawo ekibi ekyo mu Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
banaafulumyanga omuwala oyo ne bamuleeta ku mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga ky'ewaabwe ne bamukuba amayinja ne bamutta, kubanga yakola eky'ensonyi mu Yisirayeli, eky'okuba ng'akyali ku luggya lwa kitaawe, ate n'amanya omusajja. Bwe mutyo bwe muneggyangako ekibi ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo ne bafulumya omuwala oyo mu mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga kyabwe ne bamukuba amayinja ne bamutta: kubanga yakola obusirusiru mu Isiraeri, okwendera mu nnyumba ya kitaawe: bw'onoggyanga bw'otyo obubi wakati mu ggwe.