Deuteronomy 22:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bombi mubafulumyanga ku wankaaki w'ekibuga ekyo ne mubakuba amayinja, ne bafa, kubanga omuwala teyaleekaanako, sso nga yali mu kibuga, n'omusajja, kubanga yatoowaza muka munne. Muteekwa okuggyirawo ddala ekibi kino mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
munaabaleetanga bombi ku wankaaki w’ekibuga ekyo ne mubakuba amayinja ne bafa; omuwala, bwe kibanga nga yali munda mu kibuga naye n’atakuba nduulu kufuna buyambi; omusajja, kubanga yayonoona omuwala ajja okufumbirwa omusajja we. Bwe mutyo bwe munaamalangamu ekibi mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bombi munabatwalanga ku wankaaki w'ekibuga ekyo ne mu bakuba amayinja ne bafa, kubanga omuwala teyakuba nduulu ng'ali mu kibuga; era kubanga n'omusajja ye gatta ne mukazi wa munne; bw'otyo bw'onoggyanga ekibi ekyo wakati mu Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bombi munaabafulumyanga ne mubaleeta ebweru w'omulyango gw'ekibuga ekyo, ne mubakuba amayinja ne bafa. Omuwala anaafanga olw'obutakuba nduulu ate nga yali mu kibuga. N'omusajja anaafanga, kubanga atoowazizza muka munne. Bwe mutyo bwe muneggyangako ekibi ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bombi munaabafulumyanga eri wankaaki w'ekibuga ekyo, ne mubakuba amayinja n'okufa ne bafa; omuwala kubanga teyakuba nduulu, ng'ali mu kibuga; n'omusajja kubanga yatoowaza mukazi wa munne: bw'otyo bw'onoggyanga obubi wakati mu ggwe.